Ab’oluganda lweyali omubalirirzi w’ebitabo mu yafeesi ya ssaabaminister Geoffrey Kazinda baddukidde e wa ssaabalamuzi wa Uganda Alfonso Owinyi Dollo, okwekubira enduulu ku kukandaaliriza omusango gwo muntu waabwe. Nga bayita mubanamateeka baawe, bagamba kumpi emyaka etaano giyiseewo bukya ssaabawolereza wa government awakanya ensala ya kkooti eyali eyimbula kazinda, kyoka okuva olwo tebafunanga nnamula ya kkooti. Balina […]